Browsing by Author "Mayanja, Moses"
Now showing 1 - 1 of 1
- Results Per Page
- Sort Options
Item Gye nvudde w’ensomesa y’Oluganda(Journal for Language Teaching, 2024-06-15) Yawe Nakandi, Rehema; Mayanja, MosesGye buva bwenkana, olulimi lwonna lwa mugaso nnyo mu bulamu bw’omuntu; lumusobozesa okuwuliziganya n’abalala ate lumwawula ku bantu b’amawanga amalala kubanga lwe lukongojja ebyobuwangwa by’eggwanga lye. Lusobola okumukulaa-kulanya mu mbeera zonna; gamba mu byenfuna, mu byobufuzi, mu byeddiini wamu ne mu by’enkolagana n’abalala kubanga aluyigiramu era n’alukoleramu ebintu bingi. Okuva edda n’edda, Abaganda baasomesebwanga Oluganda era ne bayita mu lwo okwekulaakulanya mu mbeera zonna. Beeyambisanga litulica omwogere gwe baatambuzanga okuva ku mulembe ogumu okudda ku mulala, ng’abantu abakulu wamu n’abaabanga n’ebitone eby’enjawulo be bavunaanyizibwa ku kuten-deka emigigi emito - nga babalaga enkola y’ebintu ko n’okubeenyigizaamu. Ensomesa y’Oluganda yatambula kinnawadda okutuusa lwe yajjirwa Abazungu abaakyusa enteekateeka yaayo nga n’ekisinga byonna, be Bazungu okuggya Abaganda ku byabwe ate ne batandika okubasigamu ebyabwe (eby’Abazungu). Olwaleero, ebyenjigiriza ebisobozesa omuntu okufuuka yinjiniya, omusawo, omubazi w’ebitabo oba omukugu ow’engeri endala yonna, bisibukira ddala ku byenjigiriza bya Bajjajjaffe ebyakakasanga nti omwana atendekebwa obukugu obwamusobozesanga okuwangaala mu nsi. Noolwekyo, tugamba nti kirungi bitobekebwe mu byenjigiriza ebyo-mulembe guno ogwa saayansi ne tekinologiya kubanga bikyali bya mugaso nnyo mu kukuza omwana omuntumulamu era alibeera ow’omugaso mu nsi. Olupapula luno luwa ennyanjula; ennyinyonnyola y’ebigambo ebi-kulu; ne lulambika ensomesa y’Oluganda okuva ng’Abazungu tebannajja; nga bamaze okujja; okusoomoozebwa kwe luzze lusanga; ne kibaako n’amagezi ge kiwa mu buufu obwo.